John 18:28-30

Yesu mu maaso ga Piraato

28 aAwo Abayudaaya ne baggya Yesu ewa Kayaafa ne bamutwala mu lubiri lwa gavana Omuruumi. Obudde bwali bwakakya, ne batayingira mu lubiri baleme okusobya omukolo ogw’okwetukuza, si kulwa nga basubwa okulya Embaga y’Okuyitako. 29Awo Piraato n’afuluma ebweru gye baali n’ababuuza nti, “Musango ki gwe muvunaana omuntu ono?”

30Ne bamuddamu nti, “Singa yali tazizza musango tetwandimuleese gy’oli.”

Copyright information for LugEEEE